Enkaayana ku ttaka: Abeby'okwerinda e Wakiso babiyingiddemu
Amyuka omubaka wa Pulezidenti e Wakiso Charles Lwanga ayise bukubirirre olukiiko okuteekesa mu nkola ekiragiro kya kkooti enkulu okuyimiriza emirimu gyona egikolebwa ku ttaka erisangibwa ku kyalo Jagala mu disitulikiti eno erikaayanirwa Hajji Isaac Mulindwa Makinawa n’ab’ebibanja baalumiriza okulyesenzaako. Lwanga ng’asinzira wano alagidde buli kikolebwa ku ttaka lino okuyimirizibwa okutuusa nga kkooti esaze eggoye.