Ettaka ly’embiri lisaanawo mu Buganda, Olubiri lwa Ssekabaka Mawanda e Wakiso lutundibwa
Wabaluseewo obutakaanya wakati womulangira Nicholus Bassamula alabirira ettaka lya masiro ge ssekabaka Mawanda ne Nnalinya Nassiwa Nchwa alumirizibwa okutunda ettaka lino nga yekobaanye n’abobuyinza e Wakiso. Wetwogerera ettaka lino elya yiika 38 litemedwamu poloti lyonna, newankubadde Buganda land board yali yayimiriza entekateeka zokutunda ettaka lino. Yye Nnalinya ayogerwako yeebalamye okwogerako naffe ku nsonga zino.