Ettu lya Ssekukkulu, e Iganga abaliko obulemu baduukiriddwa
Ng’ennaku enkulu zisembera, ekitongole ki Bible Society of Uganda nga kiri wamu n’ekisomesa kya Central Busoga baliko ettu lya Ssekukkulu lyebawadde abantu abaliko obulemu bw’obutalaba. Ku mukolo ogubadde ku kisaawe e Iganga kitegezeddwa nga abantu abaliko obulemu bwebakyagenda mu maaso n’okusosolebwa kale ng’ettu lino lyakubayambako okusanyuka mu biseera bya ssekukkulu.