Manya amateeka; ddi munnayuganga lwanyinza, okugyibwako obutuuze
Bannayuganda bangi beegulidde omuze ogw’okusaba obutuuze mu mawanga amalala naddala ag’abulaaya olw’ensonga ezitali zimu. Newankubadde okufuna obutuuze mu nsi endala, tekikuggyako kuba mutuuze wa uganda, waliwo abamu abeesanze mu mbeera nga okuddamu okuba bannauganda, balina kusooka kusaba. Mu mboozi eno bannamateeka batunnyonnyola, ddi munnayuganda lwayinza okuggyibwako obutuuze bwe, era bumuddizibwa butya.