Obuseegu bususse ku mitimbagano, bannaddiini baagala emikutu egyimu gyiwerebwe
Bannadiini mu kibiina ekibagatta ki Inter - religious Council of Uganda benyamide olw’obugwenyufu obususse mu gwanga nga n’obusinga buyisibwa ku mitimbagano. Kati bano bagaala gav’t ng’eyita mu kitongole ekirungamya eby’empuliziganya ki Uganda Communications Commission okuggala emikuttu emigatta bantu egyiyisibwako obubakaa bw’obuseegu. Okwogera bino bannadiini babade bafulumya bubaka bwabwe obumalako omwaka.