Okulwanyisa obumenyi bw’amateeka, poliisi egamba yakwongera mu bikwekweto
Poliisi ewadde abakulembeze b’ebitundu amagezi, okuvaayo bunnambiro basse eriiso ejjoji ku nyumba ezitannaggwa, n’ebifulukwa, kuba abamenyi b’amateeka bangi mwebasinga okwekukuma nebatigomya abatuuze. Poliisi etegezeeza nga bwenyinyitizza ebikwekweto nga ennaku enkulu zisembera, okutangira obumenyi bw’amateeka.