Ngenda kuteseganya ne Pulezidenti Museveni, Mpuuga ayogedde ku ky’okukyusa obukulembeze
Omukulembeze w'ekisinde ky'ebyobufuzi ekijja ki Democratic Alliance, Mathias Mpuuga asuubizza okwogerezeganya n'omukulembeze w'eggwanga Yoweri Museveni wamu n'ekibiina kye ki NRM, okusala ettotto ku ngeri y'okukyusaamu obukulembeze bw’eggwanga mu mirembe. Mpuuga agamba eggwanga lukulembeddwa ekibiina kino ebbanga ddene nga walina okubeerawo okukyusa obukulembeze mu mirembe. Atubuulidde nti yakizudde nga NRM bw’etayinza kwewalibwa mu njogerezeganya zino kubanga mu kiseera kino y'erina obuyinza bannankyukakyuka bwe baagala okwezza. Okwogera bino abadde mu lukung’aana lwabannamawulire olugendererddwamu okulambika ebigendererwa byabwe.