Okutumbula eby’enjigiriza e Gulu; aba Gombe batuteeyo amasomero gaabwe
Abantu abawangaalira mu bitundu bya Acholi bafunye essanyu oluvanyuma lw’okusemberezebwa eby’enjigiriza eby’omulembe. Kino kidiridde aba Gombe Education Service okuteeka ettabi lya Gombe mu kibuga ky’e Gulu. Wano abakulembeze b’ekitundu kino webasabidde bannanyini masomero gano okuwa abaana ezaalwa ez’omukitundu kino emirimu mukifo ky’okujja abakozi mu bitundu ebirala.