Ffe tetubirimu: Aba NUP beegaanye omukolo gwa Mpuuga
Bannakibiina ki NUP bategeezezza nga bwe batagenda kwetaba ku mukolo ogwategekeddwa omubaka, Mathias Mpuuga ogw’okwebaza Katonda olw’obuweereza bwe.
Bano bagamba tebaayitiddwa ate nebwebandiyitiddwa tebandigenzeeyo olw’okuba ono bamulaba nga eyava ku nnono z’ekibiina kyabwe. Omukolo guno gusuubirwa okubaawo ng’a 21 omwezi guno.