Jessica Alupo alagide Microfinance support centre okuyambako okufunira abalimi akatale
Omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Jessica Alupo alagide ekitongole ki Microfinance support centre okuyambako mukufunira abalimi akatale kibasobozese okufuna mu byebalima. Agamba abalimi banji badondolwa olw’obutaba nakatale ka bintu byabwe ekibaviirako okufiirizibwa. Okwogera bino abadde akwasa abalimi tractor ezibawereddwa ekitongole ki microfinance support centre okutumbula eby’obulimi.