Kaweefube wa mmwanyi terimba: Katikkiro ayagala abakyala bamwenyigiremu
Katikkiro Charles Mayiga asabye abaami okuwagira abakyala baabwe okwenyigira mu bulimi bw'emmwanyi babayambeko mu kuwanirira amaka.
Abyogeredde mu disitulikiti ey'e Butambala gy'asiibye atalaaga mu nteekateeka y'emmwanyi terimba.