Kyagulanyi akunze ab'e Bushenyi: Mwegatte ku mugendo gwe nkyukakyuka
Akulira ekibiina ki National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu akutte olunaku olwokubiri nga awenjeza ekibiina obuwagizi mu buggwanjuba bwe ggwanga.
Asabye abatuuze be Bushenyi okwegatta ku bannayuganda okuleeta enkyukakyuka, kubanga ebinyiga tebyawukana n'ebinyiga bannansi abalala.
Mungeri ey'enjawulo ebitongole ebikuuma ddembe omulungi guno tebitataaganyizza ntekateeka zaabwe.