MUMANYE EBIKWATA KU TTAKA : Minisita Nabakooba akubirizza abakyala
Minisita w’eby’ettaka Judith Nabakooba akubiriza abakyala okufuba okumanya ebikwata ku ttaka. Kino kyakubayamba okumanya omugabo gwabe wadde omusajja ovudde mu nsi, nabo baleme okuviiramu awo. Okwogera bino abadde mu musoma gw’abakulembeze b’abakyala ogw’okwekulaakulanya okugubadde e Mityana.