Nobert Mao asekeredde bannabyabufuzi abasuulawo ekibiina kya DP
Ssenkaggale w'ekibiina ki Democreatic Party era nga ye minisita w’eby’amateeka Nobert Mao asekeredde bannabyabufuzi abasuulawo ekibiina kya Dp nga bamuvunaana okubalyamu olukwe nga mukiseera kino bebafuuse ekisekererwa. Mao okwogera bino abadde mulukung’aana lwabannamawulire lwatuuzizza ku wofiisi z’ekibiina ki DP bwabadde alambulula ku wa watuuse n'omukago gweyakola n'ekibiina ki NRM. Ono agamba nti newankubadde bingi ebimwogereddwa, ye tavanga ku mulamwa gw'ekibiina kye ogwokulaba nga eggwanga lifugibwa mu mateeka n’omulamwa gw'okukyusa obukulembeze mu mirembe.