Obulabe bw'okubeera omuwala e Mayuge; e Bwondah bazala mabujje
Disitulikiti ye Mayuge ezze enokolwayo ng’emu kwezo ezikyasinze okubaamu abaana abawala abafuna embuto nga bakyali bato. Okunonyereza kulaga nti abaana abawala abasukka ebitundu 25% bazaala tebanaweza myaka 18, ekyennaku bangi ku bano basangibwa n’akawuka akaleeta mukenenya. Emboozi ezijjayo ekifaananyi ekituufu ekiri e Mayuga tugenda kuba nazo buli lunaku okuva leero okutuusa ku lw’okutaano. Omusasi waffe Samuel Ssebuliba atutte ebbanga nga alondoola ensonga eno. Leero tugenda KULABA embeera y’abaana abawala ku mwalo gw'e Bwondah mu tawuni kanso ye Bwondah ebatuusiza n’okufuna embuto nga bakyali mabujje.