Okukendeeza omujjuzo mu makomera: Bannakyewa baliko amagezi gebawadde
Abatakabanira eddembe ly'obuntu baagala essiga eddamuzi lijjumbire nyo okuwa abantu ababa bazizza emisango emitonotono ebibonerezo by'okukola emirimu egigasiza awamu abantu oba ebitundu okusinga okubakuumira mu makomera okwongera ku mujjuzo oguliyo. Webutuukidde olwaleero, nga amakomera mu Uganda galimu abasibe abasukka mu mitwalo 78,000. Omujjuzo guno gukyeraliikiriza ekitongole ky'amakomera.