OKUSABA KW'OKWEBAZA KATONDA :Mathias Mpuuga alangiridde omugendo omupya
Omubaka wa palamenti owa Nyendo Mukungwe era Kamisona wa Palamenti Mathias Mpuuga alangiridde nga bw'atandise omugendo ogw'okukolagana na buli ayagala okukyusa eby'obufuzi bya Uganda naddala nga ayita mu kuteesa n'okutema empenda. Mpuuga agamba nti newankubadde alina buli kisanyizo okwesimbawo ku bukulembeze we ggwanga oba obwekibiina ki NUP , wano si w'atadde omulaka. Bino abyogeredde ku mukolo ogwokwebaza katonda olw'ebirungi byakoze mu bulamuubwe ogubadde ku Kisaawe ki Kitovu sports Arena e Masaka.