OKUTUUSA OBUJJANJABI KU BIZINGA : Eryato liweereddwayo okutambuza abasawo
Abantu abawangaalira ku bizinga batera okutawanyizibwa eby’obujjanjabi olw’entambula enzibu. Kati okuyambako okunogera ekizibu kino eddagala aba Makerere University Walter Reed Project batongozza eryato erigenda okuyambako okugonza eby’obujjanjabi mu bizinga by’e Kkoome. Bawaddeyo eryato erituuza abantu amakumi 20 ery’okutambuza abasawo n’ebikozesebwa.