Olutuula lwa Palamenti olubadde lulina okubaayo olwaleero lusaziddwamu
Olutuula lwa Palamenti olubadde lulina okubaayo olwaleero lusaziddwamu, newankubadde teri ategedde nsonga ntuufu lwaki kibadde kiti. Abamu ku babaka betwogeddeko nabo, bagamba olw’okuba nga kino tekitera kubaawo, balwooza abakubiriza palamenti batidde okudda mu mbeera gyebaayisiddwamu olunaku lw’eggulo nga ababaka bakaka amyuka sipiika okuleeta ekiteeso ku buli bwenguzi okukubaganyizibwako ebirowoozo.