Omuyizi w'ekyomusanvu eyazadde akkiriziddwa okutuula ebibuuzo
Omuyizi gwetwakulalaze olunaku lw’eggulo eyazadde e Bukomansimbi akkiriziddwa okukola ebigezo bye ebyakamalirizo. Ono ow’emyaka 14 ow’oluganda lwe yeyamufunisa olubuto nga yazadde olunaku lw’eggulo, wabula nga waabaddewo kaluma nywera ab’ekanisa nga tebaagala atuule n’abayizi balala nga bagamba ayinza okubonoona.