Polisi ekutte abatuuze olw'okubba emmwaanyi e Mpigi
Poliisi e Kituntu mu Mpigi nga eyambibwako abatuuze eriko abavubuka beekutte ku bigambibwa nti babadde beegulidde erinnya mu kubba emmwaanyi. Bano babadde bazaanula mu lugya nga bazitambuliza mu mmotoka ezitambuza abalambuzi ey’ekika kya Super Custom. Okukwatibwa basangiddwa ku sitoowa y’ammwaanyi emu mu kitundu by’e Kayabwe nga batikkula.