EMPAKA ZA UGANDA CUP: Obululu bukwatiddwa, ttiimu 2 ezitalina liigi ze zizze
Kiraabu ya Kitara FC abalina ekikopo kya Uganda Cup baakutandika kaweefube w’okwediza e kikopo kino nga bakyalira Young Simba e Bombo mu luzannya lwa round of 64 olusuubirwa okutandika wiiki ejja ku bisaawe ebyenjawulo okwetoloola eggwanga. Mu bululu obukwatiddwa olw’aleero, ttiimu bbiri zokka okuli Football Classroom ne 403 Brigade FC z’ezizze ku mulundi guno nga tezirina liigi yonna mwegizannyira. Aba Football classroom baakwambalagana ne Buhimba United Saints FC so nga yo 403 Brigade FC yaakubulonda ne KCCA FC.