She Cranes etandise okwetegekera ez’olukalu lwa Africa
Ttiimu y'eggwanga ey'okubaka the She Cranes eri mu kwetegekera mpaka za Nations Cup ezigenda okuyindira mu ggwanga lya Bungereza ku ntandikwa y'omwezi ogujja. Empaka zino z'amawanga omusanvu agakulembedde mu nsengeka y'amawanga agazannya okubaka munsi yonna. Okutendekebwa kuno kwakumala wiiki ezisoba mu bbiri nga kuyindira mu kisaawe ky'omunda e Lugogo wansi w'abatendesi Rashid Mubiru ne Ruth Meeme.