Bannadiini baagala wateekebweewo amateeka amakakali eri abosaanyaawo obutonde bwenssi. Bagamba nti mukaseera kano obutonde bwensi bwongede okwonoonebwa naddala olw’obukyupa bwa pulasitika obumala gamansimbwa. Bano babade mu lusiisira olugendereddwamu okulaba obutonde bwensi jebulina okutaatirwaamu nga luyindidde ku Eklezia ya Our Lady of Africa e Mbuya. Mungeri y’emu, abakriza bakedde kulamaga ku kijjukizo kya Mother Kevin e Nkokonjeru okujukira nga bwejiweze emyaka 68 bukyanja ôno afa. Bano baagala ono ateekebwe mu lubu lw’abeesimi olw’ebyo byeyakolera Eklezia kwosa Uganda okutwaliza awamu.
Eklezia eyagala wassibwewo amateeka amakali okukuuma obutonde
1 Min Read
Leave a review
Trending News
Recent Updates
No posts found
