Omukungu wa poliisi asuze Luzira lwa kufiiriza gavumenti obuwumbi

Gladys Namyalo
1 Min Read

Kkooti ewozesa abakenuzi mu Kampala esindise ku alimanda akulira embeera z’abakozi mu kitongole kya Poliisi Eldard Mugume ku by’ekuusa ku bulyake ebyafiriiza gavumenti obukadde bw’ensimbi.Mugume aguddwako emisango mukaaga nga gyonna gya kukoseza bubi yafeesi. Mu bimu ku bimuvunaanibwa be banoonyereza okukizuula nti waliwo omuserikale eyali yawummula, eyasigala nga afuna omusaala okumala emyaka esatu.Ono agattiddwa ku lukalala lw’abantu abalala abaaguddwako emisango olw’okufiriiza gavumenti obuwumbi 54 nga basasula abakozi ab’empewo n’okusaagira ku mirimu egyabaweebwa.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *