Abawandiika ssemateeka wa 1995 nakati bakyatenda engeri gyebamuwaamu obudde,omulundi ogukyasookedde ddala okuva Uganda lweyafuna obwetwaze,ssemateeka nawumbawumba buli kirowozo kya buli munnayuganda.Omulimu guno okumanya gwali munene gwatwalira ddala emyaka mukaaga – nga ssemateeka ono awandikibwa.Mu mboozi eno ey’okubiri ekwata ku semateeka kati awezezza emyaka 30 , tugenda kulaba engeri ssemateeka ono gyeyawandiikibwamu, kko n’ensonga ezessimba ezavaayo wakati mu mulimu guno.