Abakulu mu magye bagobeddwa mu kakiiko k’ebyokwerinda
Akakiiko ka palamenti akalondoola eby’okwerinda kagobye abakulu okuva mu minsitule y’ebyokwerinda ababadde bakulembeddwamu minisita w'eby’okwerinda Jacob Oboth Oboth, nga entabwe evudde ku bano okulabikako nga tebali n'a muduumizi w'eggye lyeggwanga Gen. Muhoozi Kainerugaba.Ababaka babadde baagala Muhoozi annyonyole ku bubuka bwe bwatera okuyisa ku mukutu gwe ogwa X, kyoka nga bagamba nti buteeka eggwanga n'obulamu bwabamu ku bannayuganda mu katyabaga .