ABANTU OMUKAAGA ABATTIBWA MU KAMPALA:Abaserikale abaakikola banoonyerezebwako
Poliisi etubuulidde nga bwetandise okunoonyereza ku ngeri ab’ebyokwerinda gyebattamu abavubuka 6 mu bitundu by’e Kamwokya nga bateeberezebwa okwenyigira mu bunyazi.Ayogerera Poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke atukakasiza nga abatibwa bonna bwe baalina emisango egy'enjawulo egyekuusa ku bubbi era nga baali baludde nga babawondera.Kyoka agamba nti okwemulugunya okuva eri bannayuganda kunzita yaabwe kubaleetedde okunoonyereza okuzuulira ddala ekyaliwo nga tebannattibwa.