Alipoota ku mbalirira y’eggwanga ebotodde ebyama ku nsasaanya ya palamenti
Kizuuse nti ekizimbe ekipya palamenti ky'ezimba okusengukiramu n'ababaka bennyini abakirindirira tebakkirizibwa kulambula mulimu wegutuuse so nga buli mwaka kiteekebwako ensimbi y'omuwi w'omusolo mpitirivu.Kino kyabalirirwa ku buwumbi bibiri nga kitandika okuzimbibwa mu 2017 era nga wetwogerera bino kirina okuba nga kyaggwa dda.Bino bibadde mu alipoota ey'abatono ku mbalirira y'eggwanga , eyasomeddwa omubaka wa Erute South Jonathan Odur mu lukiiko lw'eggwanga mweyasabidde wabeewo okunoonyereza okukolebwa ku nsimbi palamenti zeyeeyambisa.Mu alipoota eno era twakitegedde nti ng'oggyeko embalirira eweebwa ba kamisoona okuddukanya emirimu gyabwe, baayongeddwayo obuwuumbi butaano obw'enjawulo obutamanyiddwa kiki kye bugenda kukola.