Ekirwadde kya anthrax: E Kanungu eriyo abaziikula ebisolo ebifudde ne balya ennyama yaabyo
E Kannungu ewaabaluka ekirwadde kya Anthrax, waliwo abantu abatandise okuziikula ebisobolo ebiba biziikiddwa oluvannyuma lw'okufa ekirwadde kino nebalya ennyama yaabwe Embeera eno ereeseewo obweraliikirivu mu bakulembeze nga kati batandise okwokya ebisolo bino okusobola okutaasa embeera Bano era baagala gavumenti ebadduukirire n'eddagala erikozesebwa mu kugema ebisolo eri ekirwadde kino