Ensimbi Buganda z’ebanja gavumenti Ssenyonyi ayagala ziteekebwe mu mbalirira y’omwaka ogujja
Akulira oludda oluvuganya mu palamenti Joel Ssenyonyi, ayagala gavumenti esasule obusuulu obujibanjibwa ey’obuwumbi 560 olw’okukozesa ebifo bya Buganda ebyenjawulo okuli enkambi y’amagye e Makindye, kkooti y’amagye, ekomera ly’ekigo n’awalala.
Ono ayagala gavumenti esasule Buganda ssente zino, olwo bano basobole okukozesa ssente zino emirimu egy’enjawu