Frank Kiwalabye waakudda mu nsiike mu z’eggwanga mu mpaka z’ebikonde
Omukubi w’ebikonde, Frank Kiwaalababye w’akudda mu miguwa ku lw’okutaano lwa wiiki ejja nga alwanira omusipi gwa WBU gw'agenda okuvuganyako nè Karim Kisairo mu lulwana olugenda okubeera ku kkiraabu Obligato.Bano bombi buli omu aweera kuvaayo na buwanguzi.Waliwo n’ennwana endala 12 ezitegekeddwa ku lunaku lwe lumu era nga z’ezijja okusookawo nga ng’olulwana olukulu olwa Kiwaalabye ne Kisairo telunatandika.