OKULONDA KW’ABAVUBUKA :Awamu kubaddemu ebirumira, awalala kutambudde bulungi
Olwaleero abavubuka mu ggwanga lyonna basiibye balonda bakulembeze baabwe ku miruka .Kyoka tukitegedde nti awasinga abavubuka bagenze okutuuka ku bifo awalonderwa nga okulonda nga kwawedde dda, ewamu bannakibiina ki NUP bagaaniddwa okutuuka ku bifo awalonderwa, songa n’awamu kusaziddwamu.Julius Mucunguzi ayogerara akakiiko atubuulidde nti okusinziira ku ggwanga lyonna okulonda kubadde kwa mirembe, newankubadde awamu wabaddewo ebirumira.