Okusonda ensimbi z’okuwenja akalulu ka NUP kutandise bulungi
Enteekateeka y’okusondera NUP ensimbi ezinaayambayako ekibiiina okuwenja akalulu ka 2026 etandikidde mu ggiya nga abakulembeze ne bannakibiina bawaayo obukadde bw’ensimbi.NUP egamba ensimbi zaakuvujjirira emirimu egy'enjawulo mu kalulu ka 2026 kwossa okumalawo envuuvuumo ezibadde zzibungeesebwa nti ekibiina kiriko abagwira abakivujjirira.