KKAMPEYINI Z’AWAMU :E Kasambya amasasi ganyoose, E Kanungu beegudde mu malaka
Okunoonya akalulu k'okuvuganya mu kamyufu ka NRM kwongedde okweyoleka nti ssi kwa mirembe, oluvannyuma lw'abawagizi b'abavuganya ab'enjawulo okulwanagana.E Kassambya omuntu omu akubiddwa essasi erimulumizza n'emmotoka ne zookyebwa abawagizi b'omubaka David Kabanda n'ayagala okumusiguukulula Henry Muhumuza bwe basisinkanye.E Kannungu abavuganya ababadde bakubira awamu kakuyege, tebiwedde bulungi, abawagizi bwe beegudde mu malaka.