Obunkenke E Isingiro :2 be baakafiira mu mbiranye y’abawagizi ba Maari ne Bakunda
Abatuuze mu bitundu bya Isingiro South bali mu kutya olw'embiranye eyeyongedde wakati wabawagiza b'omubaka w'ekitundu kino Alex Bakunda ne gwavuganya naye Assensio Maari ku bendera y'ekibiina ku kifo kya Isingiro South.Webutuukidde leero ng'abantu babiri be baakafa olw'embiranye eriwo ng'omu yafudde bisago bye yafunira mu kulwanagana okwaliwo ku lwokutaano lwa wiiki ewedde so ng'omulala yattiddwa oluvannyuma lw'ekibinja ky'abawagizi b'omu ku beesimbyewo okumukuba amayinja. Abakulembeze mu kitundu baagala ebyokwerinda byongere okunywezebwa okusobola okuziyiza ebiyinza okuddirira.