OKULONDA KW’ABAVUBUKA :E Lwengo kubaddemu amasasi, ttiyaggaasi n’ebikonde
Ate kati katulabe okulonda mu bitundu ebyesudde kampala ne Wakiso bwekutambudde kuba waliwo ebifo gyetutegedde nti zigenze okuwera saawa ng’eemu kitundu ez’okumakya ng’okulonda kwawedde dda ab’oludda oluvuganya olutuuse okulonda nebakabatema nti bakereye. Mu district y’e Lwengo yo amasasi, tiya gaasi, ebikonde n’ensamba ggere binyoose era waliwo n’abafunye ebisago.