Lulume asaze eddiiro kati yeegasse ku PFF, bamwanirizza mu ssannyu
Michael Lulume Bayiga eyavuganyizza ku kya Pulezidenti wa Democratic Party gyebuvuddeko era nga ye mubaka wa Buikwe South mu palamenti, asaze eddiiro ne yeegatta ku kibiina ki People’s front for Freedom. Bayiga ategezeezza ng'embeera y’okubbibwa akalulu ne kya DP okusalawo okwegatta ku kibiina ki NRM mu butongole bwebyamuyigudde okunoonyayo baayise abalwanyi abalala bwe bafaananganya omulamwa gw’okuteereza eby’obufuzi by’eggwanga abeegatteko.