NRM ekalambidde ku kkampeyini ez’awamu; eyogedde ekigendererwa
Abakulira akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina ki NRM bagamba nti newankubadde wakyaliwo ebirumira mu kakuyege w’akamyufu k’ekibiina, abavuganya kikyaabakakatako okunoonyeza awamu akalulu. Newankubadde mu bitundu ebisinga kakuyege ono yavuddemu okulwanagana, n’okuyiwa omusaayi akulira akakiiko k’ebyokulonda Tanga Odoi agamba nti ekiragiro kino ssi kyakukyuka.Wabula bbo abatunuulizi bye by’obufuzi bagamba nti eno yali nsobi nnene.