Kaweefube ow’okuggyayo aba NUP mu komera atandise
Bannamateeka b’ekibiina ki NUP bategezeza nga bwebasuze obulindaala okukeera ku kkooti y’amaggye olunaku lw’enkya okubakolera ku mpapula eziyimbula abantu baabwe abaakwatibwa ku nsonga z’eby’obufuzi. Kino kiddiride kkooti ensukulumu okutegeza nga kkooti y’amaggye bwetalina buyinza kuwozesa bantu ba bulijjo. Kyoka bagamba nti baliko nokusaba kwebaafunye okuva eri abamu kwabo abaasibwako mu kooti eno nga baagala kukuba kooti eno mu mbuga zamateeka baliyirirwe.