“Kkaadi eyannyingiza nkyagirina” eyakulembera kkwaya eyayimbira Paapa e Namugongo anyumya
Eyali mu mitambo gya kkwaaya eyayimbira Paapa Francis e Namugongo lwe yakyala mu Uganda mu November wa 2015 akyaterese ne kaadi eyamuyingizanga e Namugongo lwa kumujjukira. Ono agamba ebbugumu eryaliwo nga Paapa ayingidde kaabula katono kkwaaya emuve mu ngalo nga baatendeka naye kennyini balookalooka okulaba paapa.