“Mubeere bumu” Ssaabalabirizi Kaziimba akunze abakulisitaayo b’e Mityana
Ssaabalabirizi w'ekkanisa ya Uganda Stephen Kaziimba Mugalu Asabye abakurisitaayo mu bulabirizi bw'emityana okukuuma emirembe n'okuba obumu okusobola okutwala obuweereza mu maaso. Kaziimba abadde akulembedde okusaba ku Lutikko y'obulabirizi bw'e Mityana eya St. Andrews Ee Namukozi abakurisitaayo gyebeekanddagira gyebuvuddeko nga bawakanya engeri omulabirizi James Bukomeka gyatambuzaamu emirimu. Ebyokwerinda ku kkanisa eno bibadde binywevu era obwedda buli ayingira asooka kwazibwa.