“Mukebere enkalala z’abalonzi”, akakiiko k’eby’okulonda kakunze bannayugnada
Enteekateeka y'okukebera enkalala z'abalonzi etandise olwaleero mu butongole mu bifo ebyenjawulo okwetoloola eggwanga .Ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda Simon Byabakama asabye abantu abeewandiisa okulonda bonna okugenda okukebera enkalala mu nteekateeka engenda okumala ennaku 21.Kyokka kitegeerekese nti waliwo ebifo ebiwera 620 enkalala gye zitannaba kutimbibwa olwensonga ezitali zimu .