MUNNO MU KABI: Ab’e Luwero betwakulaga bafunye obuyambi
Ku nkomerero y’omwezi oguwedde twakulaga abaana abaasulibwa nga bakyali bato kyoka nga ne gyebuli eno tebamanyi mayitire ga bazadde baabwe abaakola obuluungi mu bigezo eby’ekibiina eky’omusanvu, kyoka ng’ebyokuyingira siniya nga bikyali bya matankane. Abaana bano bali 8 era nga balabirirwa ekitongole ky’abaana ki Happy Times Child Care initiatives e Katikamu mu district y’e Luwero. Kyoka nga bwebagereesa nti Katonda w’abanaku teyeebaka, waliwo ekitongole ekivuddeyo okuwerera basatu ku baana bano nga babasasulira buli kimu okutuuka okumalako senior ey’okuna.