Okukuumira abayizi mu masomero: Baabano abayiyiizza ankola etasiizza amasomer
Mu kawefube w’okukuumira abaana naddala abawala mu somero abakulembeze baakwatagana n’ebitongole by’obwannakyewa ne bateekawo enteeketeeka gye baatuuma Good School Programme okwagazisa abaana okusoma.Mu kiseera kino bagamba nti n’omuwendo gw’abawala abawanduka mu somero mu disitulikiti y’e Kabarole gutandise okukendeera.