Omukka ogubalagala e Masaka:Poliisi egobaganye n’aba NUP ku kkooti
Poliisi e Masaka ewaliriziddwa okukuba omukka ogubalagala n'amasasi mu bawagizi b'ekibiina ki NUP ababadde bazze mu kkooti enkulu e Masaka okuwulira emisango egivunaanibwa bannaabwe basatu.Okusinziira ku poliisi bano babadde bangi nnyo nga bazibye ekkub ate nebalemerawo oluvannyuma lw'okugaanibwa okuyingira mu matwale ga kkooti y'ekitundu kino.
Abavunaanibwa okuli Achileo Kivumbi, Gadafi Mugumya ne Grace Wakabi basindikiddwa mu kkooti enkulku batandike okwewozaako ku misango gy'okukuba abakungubazi ne bannamawulire mu kuziika omugenzi Muhammad Ssegirinya ne babaako n'ebintu bye baayonoona.