Palamenti ekkirizza UPDF okwenyigira mu lutalo mu South Sudan
Palamenti ekkirizza ekiteso kya gavumenti okutwala amagye g’eggwanga aga UPDF mu ggwanga lya South Sudan nga kino gavumenti esazewo okukikola okutuukirizza obwa Sseruganda, omwoyo gw’eggwanga, n’okukuuma eby’enfuna byeggwanga.Sipiika Anita Among takkirizza kukubaganya birowoozo ku kiteeso kino nga agamba nti kyakwegenderezza nnyo kubanga kiyinza okuvaako okutabula amawanga gombi saako nokuteeka obulamu bwa bannauganda mu matigga abali mu ggwanga lya South Sudan.