Abaalondedde e Kazo-Angola balojja miggo gy’abajaasi
Oluvannyuma lw’okulonda okw’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North okwabaddewo olunaku lw’eggulo, abalonzi mu kitundu kino bagamba ekifaananyi ab’ebyokwerinda kye baayolesezza bwe kiba nga kyoleka eggwanga gye liraga, waakiri ebyokulonda biggyibwewo. Abaalozezza ku bukambwe bw’abebyokwerinda bakyalulojja era bagamba nti tebalaba nsonga lwaki ab’ebyokwerinda baatabangudde eddembe ly’abantu ne batuuka n’okulemesa ebitundu ebimu okubala obululu bwabwe.