Ababaka ba DP e Kyotera bombi basaze eddiiro nebayingira NUP
Abakulembeze b'ekibiina ki National Unity Platform baanirizza ababaka babiri okuva mu kibiina Kya Democratic Party okubeegattako. Bano kuliko Fortunate Rose Nantongo omubaka omukyala owa district ye Kyotera ne John Paul Mpalanyi Lukwago,akiikirira essaza lya Kyotera nga bano baanjuliddwa ba member. Kyoka abakulira Democratic Party e Kyotera bagamba nti ekikoleddwa ababaka bano tekibatengudde, era nga bonna bakubasimbako ababavuganya mu kulonda kwa 2026.