Abakozi abatali basomesa e Makerere beekyaye lwa misaala
Abakozi ku ssettendekero Makerere batadde wansi ebikola, olw'okulemerelwa okukkaanya ku misaaala egibasasulwa ne bakama baabwe. Mu mbalirira ey’omwaka gwa 2024/2025, government yateekawo obuwumbi 61, okusobola okwenkanyakanya emisaala gy'abakozi mu matendekero ga gavumenti.Wabula ab'e Makerere bagamba nti wakyaliwo obukwakkulizo obuva mu minsitry y'ebakozi obubalemesezza okufuna ensimbi zaabwe.